Numbers 26:28-37


28Ab’omu kika kya Yusufu nga bayita mu bika bya batabani be Manase ne Efulayimu.
29 aAb’omu kika kya Manase ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:
abaava mu Makiri, lwe lunyiriri lw’Abamakiri, Makiri ye yali kitaawe wa Gireyaadi.
Abaava mu Gireyaadi, lwe lunyiriri lw’Abagireyaadi.
30 bAb’omu kika kya Gireyaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:
abaava mu Yezeeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri,
abaava mu Kereki, lwe lunyiriri lw’Abakereki;
31abaava mu Asuliyeri, lwe lunyiriri lw’Abasuliyeri,
abaava mu Sekemu, lwe lunyiriri lw’Abasekemu:
32abaava mu Semida, lwe lunyiriri lw’Abasemida;
abaava mu Keferi, lwe lunyiriri lw’Abakeferi.
33 cZerofekadi teyazaala baana balenzi, yalina bawala bokka, amannya gaabwe ge gano: Maala, ne Noowa ne Kogula ne Mirika ne Tiruza.
34 dEzo ze nnyiriri z’ekika kya Manase; abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu (52,700).

35Ab’omu kika kya Efulayimu ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:
abaava mu Susera, lwe lunyiriri lw’Abasusera;
abaava mu Bekeri, lwe lunyiriri lw’Ababekeri;
abaava mu Takani, lwe lunyiriri lw’Abatakani.
36Bano be bazzukulu ba Susera:
abaava mu Erani, lwe lunyiriri lw’Abaerani.
37 eEzo ze nnyiriri z’ekika kya Efulayimu; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bitaano (32,500).

Abo bonna baava mu Yusufu ng’ebika byabwe bwe byali n’ennyiriri zaabwe bwe zaali.
Copyright information for LugEEEE